1 Corinthians 9:4-14

4 aSirina buyinza kulya na kunywa? 5 bSinga nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa
Keefa ye Peetero
, ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola?
6 dOba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?

7 eMuserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? 8Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? 9 fKubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 10 goba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 11 hObanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 12 iKale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.

Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo.
13 jTemumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 14 kMu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.

Copyright information for LugEEEE